Mikka 2
Luganda Contemporary Bible (Biblica)
1Zibasanze mmwe abateesa okukola ebitali bya butuukirivu era abateesa okukola ebibi nga bali ku buliri bwabwe; Obudde bwe bukya ne batuukiriza entegeka zaabwe, kubanga kiri mu nteekateeka yaabwe.
2Beegomba ebyalo ne babitwala, ne beegomba ennyumba nazo ne bazitwala. Banyigiriza omuntu ne batwala amaka ge olw’amaanyi, ne bamubbako ebyobusika bwe.
3Mukama kyava agamba nti, “Laba, ndireeta akabi ku bantu abo, ke mutagenda kweggyamu. Temuliddayo kubeera n’amalala nate kubanga kiriba kiseera kya mitawaana.
4Olwo abantu balikusekerera; Balikuyeeyereza nga bayimba oluyimba luno olw’okukungubaga nti: ‘Tugwereddewo ddala; ebintu by’abantu bange bigabanyizibbwamu. Mukama anziggirako ddala ettaka lyange, n’aliwa abo abatulyamu enkwe.’ ”
5Noolwekyo tewalisigalawo muntu n’omu mu kuŋŋaaniro lya Mukama, aligabanyaamu ettaka ku bululu.
6Bannabbi baabwe boogera nti, “Temuwa bunnabbi, Temuwa bunnabbi ku bintu ebyo; tewali kabi kagenda kututuukako.”
7Ekyo kye ky’okuddamu ggwe ennyumba ya Yakobo? Olowooza Omwoyo wa Mukama asunguwalira bwereere, si lwa bulungi bwo? Ebigambo bye tebiba birungi eri abo abakola obulungi?
8Ennaku zino abantu bange bannyimukiddeko ng’omulabe. Basika ne bambula eminagiro emirungi ne baggigya ku migongo gy’abayise ababa beetambulira mu mirembe, ng’abasajja abakomawo okuva mu lutabaalo.
9Bakazi b’abantu bange mubagoba mu mayumba gaabwe amalungi, abaana baabwe ne mubaggyirako ddala buli mukisa oguva eri Katonda.
10Muyimuke mugende, kubanga kino tekikyali kiwummulo kyammwe; olw’ebikolwa ebibi bye mukijjuzza, kyonoonese obutaddayo kuddaabirizika.
11Omuntu bw’ajja n’omwoyo ogw’obulimba, n’agamba nti, “Ka mbabuulire ku ssanyu ly’omwenge gwe baagala era gwe banoonya,” oyo y’aba nnabbi w’abantu abo.
12“Ddala ddala ndibakuŋŋaanya mwenna, ggwe Yakobo; ndikuŋŋaanya abo abaasigalawo ku Isirayiri. Ndibakuŋŋaanya ng’akuŋŋaanya endiga ez’omu ddundiro, ng’ekisibo mu ddundiro lyakyo, ekifo kirijjula abantu.
13Oyo aggulawo ekkubo alibakulembera okubaggya mu buwaŋŋanguse, abayise mu mulyango abafulumye. Era kabaka waabwe alibakulembera, Mukama alibakulembera.”
Mikka
Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.
© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0