Mikka 5
Luganda Contemporary Bible (Biblica)
1Kuŋŋaanya amaggye go, ggwe ekibuga ekirina amaggye, kubanga tulumbiddwa. Omukulembeze wa Isirayiri balimukuba omuggo ku luba.
2“Naye ggwe Besirekemu Efulasa, newaakubadde ng’oli mutono mu bika bya Yuda, mu ggwe mwe muliva alibeera omufuzi wange mu Isirayiri. Oyo yaliwo okuva edda n’edda, ng’ensi tennabaawo.”
3Mukama kyaliva awaayo Isirayiri eri abalabe baayo okutuusa omukyala alumwa okuzaala lwalizaala omwana, era baganda be abaasigalawo ne balyoka bakomawo eri bannaabwe mu Isirayiri.
4Aliyimirira n’anyweera n’aliisa ekisibo kye mu maanyi ga Mukama, mu kitiibwa ky’erinnya lya Mukama Katonda we. Era abantu be tebalibaako abateganya, kubanga aliba mukulu okutuusa ku nkomerero y’ensi.
5Omukulu oyo aliba mirembe gyabwe. Omwasuli bw’alirumba ensi yaffe n’abuna ebigo byaffe, tulimuyimbulira abasumba musanvu, n’abakulembeze munaana.
6Abo be balifuga ensi ya Asuli n’ekitala era ensi ya Nimuloodi nayo bagyonoone. Naye alitulokola eri Omwasuli bw’alitulumba mu nsi yaffe era bw’aliyingira mu nsalo zaffe.
7Abantu ba Isirayiri abalisigalawo balibeera wakati mu mawanga agabeetoolodde, babe ng’omusulo oguva eri Mukama, ng’obukubakuba obutonnyeredde ku muddo obutalindirira muntu oba abaana b’abantu.
8Ng’empologoma bw’ebeera n’ensolo endala ez’omu nsiko, abantu abaasigalawo aba Yakobo balibeera mu mawanga mangi agabeetoolodde; ate era ng’empologoma ento mu bisibo by’endiga, bw’egenda n’eyitamu n’etaagulataagula ne wataba n’omu aziwonya.
9Omukono gwo guliwangula abalabe bo, ne bonna abakuyigganya balizikirizibwa.
10“Ku lunaku olwo,” bw’ayogera Mukama, “Ndizikiriza embalaasi zo ne nsanyaawo n’amagaali go.
11Ndizikiriza ebibuga eby’omu nsi yo era mmenyemenye n’ebigo byo byonna.
12Obulogo bwo ndibumalawo era toliddayo kukolima nate.
13N’ebibumbe bye musinza ndibizikiriza. Ne nziggyawo n’amayinja ge mwawonga; temuliddayo nate kuvuunamira bakatonda be mwekoledde n’emikono gyammwe.
14Era ndisigula Baasera okuva mu mmwe, ebibuga byammwe n’embizikiriza.
15Era ndyesasuza ku mawanga agataŋŋondedde n’obusungu n’ekiruyi.”
Mikka
Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.
© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0