Yobu 40
Luganda Contemporary Bible (Biblica)
1Awo Mukama n’agamba Yobu nti,
2“Oyo anoonya okuyombera ebitaliimu anaayombesa Ayinzabyonna? Oyo aleeta empaka ku Katonda, amuddemu.”
3Awo Yobu n’addamu Mukama nti,
4“Laba, sisaanidde, kiki kye nnaakuddamu? Emimwa kangibikkeko n’engalo.
5Njogedde omulundi gumu, so siddemu; weewaawo emirundi ebiri sseeyongere mulundi mulala.”
6Awo Mukama ng’ali mu muyaga ogw’amaanyi n’addamu Yobu nti,
7“Weesibe engoye zo onywere ng’omusajja. Ka nkubuuze, naawe onziremu.
8“Onojjulula ensala yange ey’emisango; ononsingisa omusango ggwe atuukiridde?
9Olina omukono ng’ogwa Katonda, eddoboozi lyo lisobola okubwatuka ng’erirye?
10Kale nno yambala ekitiibwa n’obukulu weesibe ekitiibwa n’okusukkuluma osukkulume.
11Yolesa obusungu bw’ekiruyi kyo otunuulire buli wa malala omusse wansi.
12Tunuulira buli musajja ow’amalala omukkakkanye era olinnyirire abakozi b’ebibi obabetentere we bali.
13Bonna baziikire wamu mu nfuufu, emitwe gyabwe ogibikkire mu ntaana.
14Nange kennyini ndyoke nzikirize, ng’omukono gwo ogwa ddyo, gusobola okukuwa amaanyi.”
15“Laba ekisolo ekyefaananyiriza ng’envubu kye natonda nga ggwe, erya omuddo ng’ente,
16nga kirina amaanyi mayitirivu mu kiwato kyakyo amaanyi mangi mu binywa by’olubuto lwakyo.
17Kiwuuba omukira gwakyo ne guba ng’omukira gw’omuvule Ebinywa by’ebisambi byakyo byakwatagana nnyo.
18Amagumba gaakyo gali ng’enseke ez’ebikomo; amagulu n’emikono ng’emitayimbwa.
19Kibalibwa mu bitonde bya Katonda ebisooka, ate nga Katonda eyakitonda asobola okukisemberera n’ekitala kye.
20Weewaawo ensozi zikireetera emmere, eyo ku nsozi, ensolo ez’omu nsiko zonna gye zizannyira.
21Wansi w’ebisiikirize by’emiti egy’amaggwa, we kyebaka, ne kyekweka mu bitoogo ne mu bitosi.
22Ebisiikirize by’emiti bikibikkako, emiti egiri ku mabbali g’omugga ne gikibikkako.
23Laba omugga ne bwe gusiikuuka tekyekanga; kiba kinywevu, Yoludaani ne bwajjula n’abooga.
24Eriyo omuntu yenna ayinza okukikwata, oba okuyuza ennyindo yaakyo n’akasaale?”
Yobu
Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.
© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0