Yobu 25

Luganda Contemporary Bible (Biblica)

Awo Birudaadi Omusuki n’addamu n’ayogera nti,

“Okufuga kwa Katonda n’entiisa ya Katonda; ateekawo enkola entuufu mu bifo ebya waggulu mu ggulu.

Amaggye ge gasobola okubalibwa? Ani atayakirwa musana gwe?

Olwo omuntu ayinza atya okwelowooza nti mutuukirivu awali Katonda? Omuntu eyazaalibwa omukazi ayinza atya okuba omulongoofu?

Laba n’omwezi tegulina bye gwaka, n’emmunyeenye si nnongoofu mu maaso ge.

Ate omuntu obuntu oyo envunyu obuvunyu, omwana w’omuntu, oyo olusiriŋŋanyi, ayinza atya okwelowooza nti mulongoofu!”

Yobu

Ggulawo omusomi ogw’enkolagana okukyusa enkyusa, okulongoosa ennukuta, n’okuteeka obubonero ku nnyiriri — oba noonya ennyiriri okusinziira ku mutwe.

© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0