Ennyiriri za Bayibuli ku Banaawulira Batya
Ennyiriri za Bayibuli 12 ku Banaawulira Batya okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Kale balikoowoola batya oyo gwe batakkiririzaamu? Era balikkiriza batya oyo gwe batawulirangako? Era baliwulira batya awatali abuulira?
Noolwekyo okukkiriza kujja olw’okuwulira ekigambo kya Kristo.
Buli alikoowoola erinnya lya Mukama alirokoka.
N’agamba abayigirizwa be nti, “Eby’okukungula bingi nnyo, naye abakozi abakungula batono. Noolwekyo musabe nannyini nnimiro, aweereze abakozi mu nnimiro ye.”
Ne bamugamba nti, “Kkiriza Mukama waffe Yesu onoolokolebwa, ggwe n’ennyumba yo yonna.”
Era balibuulira batya nga tebatumiddwa? Ekyawandiikibwa nga bwe kigamba nti, “Ebigere by’abo abategeeza amawulire amalungi, nga birungi.”
Tewali ayinza kujja gye ndi wabula nga Kitange eyantuma amuyise, era Nze ndimuzuukiza ku lunaku olw’enkomerero.
omuntu oyo akomyawo munne eri Katonda, aba awonyezza omwoyo gwa munne okufa era ng’amuleetedde n’okusonyiyibwa ebibi byonna.
Kubanga Katonda, mu magezi ge, yalaba ng’ensi teyinza kumumanya ng’eyita mu kutegeera kwayo. Katonda kyeyava asiima okuyita mu busirusiru bw’okubuulira Enjiri okulokola abakkiriza.
Naye obanga ddala Enjiri yaffe ekwekeddwa, ekwekeddwa eri abo ababula. Katonda w’emirembe gino yazibikira ebirowoozo by’abo abatakkiriza, obutabamulisiza njiri ey’ekitiibwa kya Kristo, ye nga kye kifaananyi kya Katonda.
Odduukiriranga n’owonya abo abatwalibwa okuttibwa, n’abo abali ku njegoyego z’okuttibwa, obawonye okuttirwa obwemage.
Bwe ŋŋambanga omukozi w’ebibi nti, ‘Ggwe omwonoonyi, mazima olifa,’ n’otoyogera okumulabula okuleka ekkubo lye, omwonoonyi oyo alifa olw’ebibi bye, naye omusaayi gwe ndiguvunaana gwe.