Ennyiriri za Bayibuli ku Buli Ggwanga na Lulimi
Ennyiriri za Bayibuli 9 ku Buli Ggwanga na Lulimi okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Oluvannyuma lw’ebyo ne ndaba, era laba, ekibiina ky’abantu ekinene ennyo nga tebasoboka na kubalika, nga bava mu buli nsi na buli kika, na buli ggwanga na buli lulimi, nga bayimiridde mu maaso g’entebe ey’obwakabaka ne mu maaso g’Omwana gw’Endiga nga bambadde ebyambalo ebyeru nga balina n’enkindu mu ngalo zaabwe.
Baali bamuyimbira oluyimba oluggya nti, “Ggw’osaanidde okutoola omuzingo gw’ekitabo, n’okusumulula ebigusibye n’okuguzingulula, kubanga wattibwa, omusaayi gwo ne gununula abantu ba Katonda okubaggya mu buli kika, na buli lulimi, na buli ggwanga, na buli nsi.
Ensi zonna zirijjukira ne zikyukira Mukama, ebika byonna eby’amawanga gonna birimuvuunamira.
buli vviivi ery’abo abali mu ggulu n’abali ku nsi, era n’abali wansi w’ensi liryoke lifukaamirirenga erinnya lya Yesu, era buli lulimi lwatulenga nga Yesu Kristo ye Mukama, Katonda Kitaffe aweebwe ekitiibwa.
N’aweebwa obuyinza, n’ekitiibwa, n’obwakabaka n’amaanyi agava waggulu; abantu bonna, n’amawanga gonna, n’abantu ab’ennimi zonna ne bamusinzanga. Okufuga kwe kwa mirembe na mirembe, tekuliggwaawo, n’obwakabaka bwe tebulizikirizibwa.
Ne ndyoka mpulira buli kitonde kyonna mu ggulu ne ku nsi ne wansi w’ensi ne mu nnyanja ne byonna ebigirimu nga bitendereza nti, “Okutenderezebwa, n’ettendo, n’ekitiibwa, n’amaanyi by’Oyo atudde ku ntebe y’obwakabaka awamu n’Omwana gw’Endiga, Emirembe n’emirembe.”
Neerayiridde, ekigambo kivudde mu kamwa kange mu mazima so tekiriggibwawo mu maaso gange. Buli vviivi lirifukamira, na buli lulimi lulirayira!
Kubanga kyawandiikibwa nti, “ ‘Nga bwe ndi omulamu,’ bw’ayogera Mukama, ‘buli vviivi lirinfukaamirira era na buli lulimi lulyatula Katonda.’ ”
Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Mu nnaku ezo abasajja kkumi okuva mu buli lulimi olwogerwa mu mawanga balyekwata ku kyambalo ky’Omuyudaaya bagambe nti, ‘Muleke tugende nammwe kubanga twawulira nga Katonda ali nammwe.’ ”