Nakkumu 1

Luganda Contemporary Bible (Biblica)

1Kuno kwe kwolesebwa Katonda kwe yalaga Nakkumu, Omwerukoosi okukwata ku bibambulira ebyali bijjira Nineeve.

2Katonda wa buggya era Mukama awalana eggwanga. Mukama awalana eggwanga era ajudde ekiruyi. Mukama yeesasuza ku balabe be era aterekera abamuwakanya obusungu bwe.

3Mukama tatera kusunguwala, ate nga wa maanyi mangi era tayinza n’akatono butabonereza oyo gwe gusinze. Ekkubo lye liri mu mpewo ey’akazimu ne mu kibuyaga, n’ebire ye nfuufu y’ebigere bye.

4Akangavvula ennyanja n’agikaza era akaza emigga gyonna, ennimiro ez’omu Basani zikala, olusozi Kalumeeri lwonna lukayuse, n’ebimuli bya Lebanooni biwotose.

5Ensozi zikankanira mu maaso ga Katonda, obusozi ne busaanuuka, ettaka ne lyatikayatika mu maaso ge, ensi n’ekankana n’abantu bonna abagirimu.

6Ani ayinza okuyimirira mu maaso ge ng’asunguwadde? Ani ayinza okugumira obusungu bwe obw’amaanyi? Ekiruyi kye kibuubuuka ng’omuliro, n’enjazi n’eziyatikayatika.

7Mukama mulungi, kiddukiro mu kiseera eky’okulabiramu ennaku, era alabirira abo bonna abamwesiga.

8Naye alisaanyaawo abalabe be mu mataba amazibu, ekizikiza kiribawondera.

9Buli kye mwekobaana okukola Mukama, alikikomya. Akabi tekalijja mulundi gwakubiri.

10Kubanga baliba ng’amaggwa agakwataganye, era nga batamidde, balyoke bookebwe omuliro ng’ekisambu ekikalu.

11Mu ggwe Nineeve muvuddemu omuntu alowooza akabi era ateesa ebibi ku Mukama.

12Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Newaakubadde nga balina be bakolagana nabo bangi, ate nga bangi, balizikirizibwa ne baggwaawo. Newaakubadde nga mbabonereza mmwe abantu bange, siriddayo kukikola nate.

13Kaakano nzija kumenya ekikoligo kyabwe nkibaggyeko era n’ebibasibye nnaabikutulakutula.”

14Kino Mukama ky’alagidde ekikwata ku Nineeve: “Erinnya lyo terikyayala nate. Ndizikiriza ekifaananyi ekyole n’ekifaananyi ekisaanuuse ebiri mu masabo g’abakatonda bo; ndisima entaana yo kubanga oyinze obugwagwa.”

15Yimusa amaaso, tunula ku nsozi, laba, ebigere ebirungi eby’oyo aleese amawulire amalungi, alangirira emirembe. Ggwe Yuda kwata embaga zo entukuvu, era otuukirize obweyamo bwo; omubi kaakano takyakulumba, azikiririzibbwa ddala, tolimulaba nate.

Nakkumu

Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.

© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0