Kaabakuuku 1
Luganda Contemporary Bible (Biblica)
1Buno bwe bubaka bwa Mukama, Kaabakuuku nnabbi bwe yafuna.
2Ayi Mukama, ndituusa ddi okukukaabirira naye nga tompuliriza? Lwaki nkukaabirira nti, “Ebikolwa eby’obukambwe bimpitiriddeko,” naye n’otonnyamba?
3Lwaki ondaga obutali bwenkanya era lwaki ogumiikiriza obukyamu? Kubanga okuzikiriza n’ebikolwa eby’obukambwe biri mu maaso gange, empaka n’ennyombo byeyongede.
4Amateeka kyegavudde gatagonderwa era n’obwenkanya ne butakolebwa. Ababi be basinga abatuukirivu obungi era babeebunguludde, n’obwenkanya ne bulinnyirirwa.
5“Mutunuulire amawanga, mwetegereze. Mwewuunyize ddala nnyo. Kubanga ŋŋenda kukola omulimu mu nnaku zammwe gwe mutalikkiriza newaakubadde nga mugubuuliddwa.
6Kubanga laba, nkuyimusiza Abakaludaaya, eggwanga eryo eririna ettima era ekkambwe, ababunye ensi eno n’eri nga bawamba amawanga agatali gaabwe.
7Ba ntiisa, batiibwa, be beetekera amateeka gaabwe era be bagassa mu nkola, nga balwanirira ekitiibwa kyabwe.
8Embalaasi zaabwe zidduka okukira engo, era mu bukambwe zikira emisege egy’ekiro. Abasajja abeebagala embalaasi bava mu nsi ey’ewala era bajja beesaasaanyizza ne banguwa okutuuka ng’ensega bw’erumba ky’eneerya.
9Bajja n’eryanyi bonna, ebibinja byabwe birumba ng’embuyaga ey’omu ddungu; ne balyoka bayoola abawambe abangi ng’omusenyu.
10Weewaawo, basekerera bakabaka ne baduulira n’abakungu. Basekerera buli kibuga ekiriko ekigo ne bakituumako ebifunfugu ne balinnyira okwo, ne bakiwamba.
11Awo ne bayita nga bakunta ng’embuyaga; abantu bano omusango be gwasinga, eryanyi lyabwe ye katonda waabwe.”
12Ayi Mukama toli wa mirembe na mirembe, ggwe Mukama Katonda wange, si ggwe Mutukuvu wange? Tetulifa. Ayi Mukama ggwe wabateekawo n’obawa amaanyi batusalire emisango. Era ggwe Olwazi, wabateekawo kubonereza.
13Amaaso go gajjudde obulongoofu tegatunula ku kibi, so toyinza kugumiikiriza bukyamu. Kale lwaki ggwe ogumiikiriza ab’enkwe, n’osirika ng’omubi amalirawo ddala omuntu amusinga obutuukirivu?
14Kubanga abantu obafudde ng’ebyennyanja eby’omu nnyanja, ng’ebitonde eby’omu nnyanja ebitaliiko abifuga.
15Omulabe omubi abakwata bonna ng’eddobo, oluusi n’abawalula mu katimba ke, n’abakuŋŋaanya mu kiragala kye n’alyoka asanyuka n’ajaguza.
16Kyava awaayo ssaddaaka eri akatimba ke n’ayotereza n’ekiragala kye obubaane; akatimba ke kamuwa obulamu obw’okwejalabya, n’alya emmere ey’ekigagga.
17Kale, bwe batyo bwe banaalekebwa okutikkula obutimba bwabwe, n’okusaanyaawo amawanga awatali kusaasira?
Kaabakuuku
Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.
© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0