Omubuulizi 1

Luganda Contemporary Bible (Biblica)

1Ebigambo by’Omubuulizi, mutabani wa Dawudi kabaka mu Yerusaalemi.

2“Obutaliimu! Obutaliimu!” bw’ayogera Omubuulizi. Byonna butaliimu.

3Omuntu afuna ki mu byonna by’akola, mu byonna ebimukooya wansi w’enjuba?

4Omulembe ogumu gugenda, omulala ne gujja, naye ensi ebeerera emirembe gyonna.

5Enjuba evaayo era n’egwa, ate n’eyanguwa okutuuka mu kifo mw’eviirayo.

6Empewo ekunta ng’eraga obukiikaddyo, ne yeetooloola okutuuka obukiikakkono; empewo yeetooloola ne yeetooloola, n’ekomerawo ku biwaawaatiro byayo.

7Emigga gyonna gikulukuta nga giraga mu nnyanja, naye ennyanja tejjula; ekifo emigga gye gikulukutira era gye gyeyongera okukulukutira.

8Ebintu byonna bijjudde obukoowu omuntu bw’atasobola kutenda! Eriiso terimatira kulaba, wadde okutu okukoowa okuwulira.

9Ekyo ekyabaawo era kye kigenda okubaawo, n’ekyo ekikoleddwa era kye kigenda okukolebwa; era tewali kintu kiggya wansi w’enjuba.

10Waali wabaddewo ekintu ekyali kigambiddwa nti, “Laba kino kiggya”? Kyaliwo dda mu mirembe egyatusooka?

11Tewali kujjukira bintu byasooka era tewaliba kujjukira bintu ebyo ebitanabaawo mu ebyo ebijja oluvannyuma.

12Nze Omubuulizi nali kabaka wa Isirayiri mu Yerusaalemi.

13Nagezaako n’omutima gwange okuyiga n’okwetegereza n’amagezi gange gonna mu ebyo ebikolebwa wansi w’eggulu; omulimu Katonda gwe yawa abaana b’abantu okukola, guteganya.

14Ndabye ebintu byonna ebikolebwa wansi w’enjuba; era laba, byonna butaliimu na kugoberera mpewo.

15Ekyo ekyakyama tekisoboka kugololebwa, n’ekibulako tekibalibwa.

16Nayogera munda yange nti, “Nfunye amagezi mangi agasinga ag’abo bonna abaali babadde mu Yerusaalemi, era nfunye amagezi n’okumanya kungi.”

17Era omutima gwange ne gumanya okwawula amagezi n’eddalu, n’obutategeera. Ne ntegeera nti na kino nakyo kugoberera mpewo.

18Kubanga mu magezi amangi mujjiramu okunakuwala kungi; amagezi gye gakoma obungi, n’okunakuwala gye gukoma.

Omubuulizi

Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.

© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0