Amosi 8
Luganda Contemporary Bible (Biblica)
1Bino Mukama Katonda bye yandaga. Ne ndaba ekisero ekirimu ebibala ebyengedde.
2Mukama n’ambuuza nti, “Amosi, kiki ky’olaba?” Ne muddamu nti, “Ndaba ekisero ky’ebibala ebyengedde.” Mukama n’alyoka aŋŋamba nti, “Ekiseera eky’okubonereza abaana ba Isirayiri kituuse. Siribasonyiwa nate.
3“Ku lunaku olwo,” bw’ayogera Mukama Katonda, “okuyimba kw’omu yeekaalu kulifuuka kukungubaga. Walibeerawo okufa okuyitirivu, emirambo nga gibunye wonna. Walibaawo akasiriikiriro.”
4Muwulire bino mmwe abalinnyirira abateesobola, era abasaanyaawo abanaku b’omu nsi,
5nga mwogera nti, “Ennaku enkulu ez’Omwezi ogwa kaboneka ziggwaako ddi, tulyoke tutunde emmere yaffe ey’empeke, era ne Ssabbiiti eggwaako ddi, tutunde eŋŋaano yaffe?” Mukozesa minzaani enkyamu ne mwongera emiwendo ne mukozesa n’ebipimo ebitatuuse,
6mmwe abagula abaavu n’effeeza n’abanaku ne mubagula n’omugogo gw’engatto, ne mutundira ebisaaniiko mu ŋŋaano.
7Mukama yeeweredde amalala ga Yakobo ng’agamba nti, “Sigenda kwerabira bintu bye bakoze.
8“Ensi terikankana olw’ekyo, na buli abeeramu n’akungubaga? Ensi yonna eritumbiira ng’omugga Kiyira n’ekka ng’amazzi ag’omugga gw’e Misiri bwe gakola.”
9Mukama Katonda agamba nti, “Ku lunaku olwo, enjuba erigwiira mu ttuntu era ensi erikwata ekizikiza emisana ttuku.
10Embaga zammwe ez’eddini ndizifuula mikolo gya kukungubaga era okuyimba kwammwe kwonna kulifuuka kukaaba. Mwenna nzija kubatuusa ku kwambala ebibukutu n’emitwe gyammwe mugimwe. Olunaku olwo ndilufuula ng’olw’okukungubagira omwana owoobulenzi omu yekka, era n’enkomerero yaabyo ekaayire ddala.
11“Ekiseera kijja,” bw’ayogera Mukama Katonda, “lwe ndisindika enjala mu nsi yonna, teriba njala ya mmere oba nnyonta y’amazzi, naye eriba enjala y’ekigambo kya Katonda.
12Abantu balibundabunda okuva ku nnyanja emu okudda ku ndala, bave mu bukiikakkono badde mu bukiikaddyo nga banoonya ekigambo kya Mukama, naye tebalikifuna.
13“Mu biro ebyo, “abawala ababalagavu n’abalenzi ab’amaanyi balizirika olw’ennyonta.
14Abo abaalayira eby’ensonyi eby’e Samaliya oba abaayogera nti, ‘Nga katonda wo bw’ali omulamu ggwe Ddaani,’ oba nti, ‘Nga katonda w’e Beeruseba bw’ali omulamu,’ baligwa obutayimuka nate.”
Amosi
Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.
© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0