Amosi 5
Luganda Contemporary Bible (Biblica)
1Muwulirize mmwe abantu ba Isirayiri ekigambo kino eky’ennaku ekibakwatako.
2“Isirayiri embeerera agudde obutayimuka nate. Bamwabulidde era tewali amuyimusa.”
3Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Ekibuga ekiyungula abalwanyi olukumi okugenda mu lutalo kirisigazaawo kikumi bokka, n’ekyo ekiweereza ekikumi, kirizza kkumi bokka!”
4Bw’ati bw’ayogera Mukama eri ennyumba ya Isirayiri nti, “Munnoonye kale munaabanga balamu.
5Temunnoonyeza Beseri so temulaga Girugaali wadde okulaga e Beeruseba. Kubanga abantu b’e Girugaali balitwalibwa mu buwaŋŋanguse era ne Beseri kiriggwaawo.”
6Munoonye Mukama munaabanga balamu aleme okubuubuuka ng’omuliro ku nnyumba ya Yusufu; guligyokya nga tewali wa kuguzikiza mu Beseri.
7Mmwe abantu ba Isirayiri abafuula obwenkanya okuba eky’okufumwa obufumwa mutulugunya obutuukirivu.
8Oyo eyakola ettendo eriri mu mmunyeenye ezaaka ng’ebizungirizi era afuula ekisiikirize okubeera enkya era akyusa obudde ne buva mu kitangaala ne bufuuka ekiro, ayita amazzi g’omu nnyanja ne gafukirira ensi ng’enkuba, Mukama lye linnya lye.
9Okutemya n’okuzibula aleeta okuzikirira ku b’amaanyi era n’asaanyaawo ebibuga ebiriko ebigo.
10Mukyawa abalamuzi abasalawo mu bwenkanya era munyooma n’abo aboogera amazima.
11Olinnyirira omwavu, n’omuwaliriza okukuwa emmere ey’empeke. Newaakubadde nga mwezimbidde amayumba ag’amayinja, temuligabeeramu; era newaakubadde nga mwesimbidde ennimiro z’emizabbibu ennungi, temulinywa ku wayini waamu.
12Ebibi byammwe mbimanyi, nga bingi ate nga bisasamaza. Munyigiriza omutuukirivu ne mulya n’enguzi, abaavu temubasalira musango mu bwenkanya.
13Noolwekyo oyo alina amagezi kyaliva asirika obusirisi mu biseera ng’ebyo kubanga ennaku mbi.
14Munoonyenga okukola obulungi, so si obubi munaabeeranga balamu! Bw’atyo Mukama Katonda ow’Eggye anaabeeranga mubeezi wammwe nga bulijjo bwe mumuyita.
15Mukyawe ekibi, mwagalenga ekirungi era embuga z’amateeka zibeerengamu obwenkanya. Oboolyawo Mukama Katonda ow’Eggye anaabakwatirwa ekisa abantu abo abaasigalawo ku Yusufu.
16Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, “Walibeerawo okwaziirana mu nguudo n’okukaaba mu buli kibangirizi eky’omu kibuga. N’abalimi baliyitibwa, bakaabe, n’abakungubazi bakube ebiwoobe.
17Walibaawo okukaaba mu buli nnimiro ya mizabbibu kubanga nzija okuyita wakati mu mmwe.”
18Zibasanze mmwe abasuubira olunaku lwa Mukama. Lwaki mwesunga olunaku lwa Mukama? Olunaku olwo luliba kizikiza so si kitangaala.
19Olunaku olwo lulibeera ng’omusajja adduka empologoma n’asisinkana eddubu, bw’aba ng’ayingira mu nnyumba ne yeekwata ku kisenge, ate n’abojjebwa omusota.
20Olunaku lwa Mukama, teruliba kizikiza awatali kitangaala n’akatono, ng’ekizikiza ekikutte ennyo?
21Nkyawa, era nnyooma embaga zammwe n’emikolo gyammwe egy’eddiini so sisanyukira kukuŋŋaana kwammwe.
22Weewaawo, ne bwe munaawaayo gye ndi ebiweebwayo byammwe ebyokebwa n’ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke, sijja kubikkiriza. Ne bwe mulireeta ebiweebwayo olw’emirembe ebisinga obulungi, siribikkiriza.
23Muggyeewo ennyimba zammwe ez’okutendereza. Siriwuliriza na bivuga ng’entongooli zammwe.
24Kye njagala okulaba ge mazima n’obwenkanya nga bikulukuta ng’amazzi, n’obutuukirivu nga bukulukuta ng’omugga ogw’amaanyi.
25“Mwandeeteranga ssaddaaka n’ebiweebwayo mu ddungu emyaka gyonna amakumi ana, ggw’ennyumba ya Isirayiri?
26Muyimusizza essabo lya kabaka wammwe, amaanyi ga bakatonda bammwe, n’emmunyeenye ya katonda wammwe, bye mwekolera mmwe.
27Kyendiva mbawaŋŋangusa okusukka Ddamasiko,” bw’ayogera Mukama, ayitibwa Katonda Ayinzabyonna.
Amosi
Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.
© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0