Ennyiriri za Bayibuli ku Okuzuukira n'Okuwangula Okufa
Kristo azuukidde — entaana njereere era okufa kuwanguddwa. Olw'okuba mulamu, abo abegasse naye bazuukizibwa mu bulamu obupya era baweebwa essuubi eddamu. Ennyiriri zino zijaguza okuzuukira n'obuwanguzi obuli bwaffe mu ye.
Kyokka ddala Kristo yazuukizibwa mu bafu, era bye bibala ebibereberye eby’abo abaafa.
Taliiwo wano, azuukidde! Mujjukire bye yabagamba nga muli e Ggaliraaya nti,
“Ggwe kufa, obuwanguzi bwo buluwa? Ggwe kufa, amaanyi go agalumya galuwa?”
Nga bwe mwazuukirira awamu ne Kristo, munoonyenga ebintu ebiri mu ggulu, Kristo gy’atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.
Kaakano ekisa ekyo kyolesebbwa mu kulabika kw’Omulokozi waffe Kristo Yesu eyaggyawo okufa, n’aleeta obulamu obutazikirizibwa ng’ayita mu Njiri,
era omulamu. Nnali nfudde naye kaakano ndi mulamu emirembe gyonna, era nnina ebisumuluzo eby’okufa n’amagombe.
Kyokka buli omu mu luwalo lwe, Kristo ye yasooka era bw’alijja ababe ne baddako,
Njagala okussa ekimu mu bibonoobono bye, nga mmufaanana mu kufa kwe, mmumanye era ntegeere amaanyi g’okuzuukira kwe,
Bwe twabatizibwa twaziikibwa wamu ne Kristo. Nga Kristo bwe yazuukizibwa okuva mu bafu olw’ekitiibwa kya Kitaawe, naffe twafuna obulamu obuggya, era bwe tutyo tutambulirenga mu bulamu obwo obuggya.
Mu bbanga ttono, ensi eneeba tekyandaba, naye mmwe nga mundaba. Kubanga Nze ndi mulamu, era nammwe muliba balamu.
Yesu n’amugamba nti, “Nze kuzuukira n’obulamu; akkiriza nze newaakubadde ng’afudde, aliba mulamu,