Ennyiriri za Bayibuli ku Okwemalira ku Bannaffe
Ennyiriri za Bayibuli 14 ku Okwemalira ku Bannaffe okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
nga mwagalana mu kwagala okw’abooluganda, nga muwaŋŋana ekitiibwa,
Kale mugumyaganenga era muzimbaganenga nga bwe mubadde mukola.
Muyambaganenga, bwe mutyo bwe munaatuukirizanga etteeka lya Kristo.
nga temukola kintu na kimu olw’okuvuganya wadde okwewaana okutaliimu, wabula mu bwetoowaze nga buli muntu agulumiza munne okusinga bwe mwegulumiza mwekka, nga buli muntu tatunuulira bibye yekka, naye ng’afaayo ne ku by’abalala.
Mubeerenga bakkakkamu, abawombeefu era abagumiikiriza, nga mugumiikirizagana mu kwagala.
N’ekisingira ddala obukulu mwagalanenga ddala mu mazima, kubanga okwagalana kubikka ebibi bingi.
Bwe wabangawo omuntu yenna alina ensonga ku munne, muzibiikirizaganenga, era musonyiwaganenga. Nga Mukama waffe bwe yabasonyiwa era nammwe musonyiwaganenga.
“Mbawa ekiragiro ekiggya: Mwagalanenga nga nze bwe mbaagala. Bwe munaayagalananga abantu bonna kwe banaategeereranga nti muli bayigirizwa bange.”
Mulabenga nga mu mmwe temuli muntu asasula ekibi olw’ekibi, naye bulijjo mukolenga obulungi buli muntu ne munne, era n’eri abantu bonna.
era tussengayo omwoyo buli muntu eri munne, nga twekubiriza mu kwagala ne mu kukola ebikolwa ebirungi. Tuleme kulekayo kukuŋŋaana, ng’abamu bwe bakola, naye buli muntu agumye munne, na ddala nga bwe mulaba nti, Olunaku lw’okudda kwa Mukama waffe lusembedde.
Noolwekyo mwanirizaganenga, nga Kristo bwe yabaaniriza olw’ekitiibwa kya Katonda.
olwo omubiri ne guteeyawulamu naye ebitundu byonna, ne biyambagana byokka ne byokka.
Kubanga mmwe abooluganda mwayitibwa lwa ddembe, noolwekyo eddembe teribawa bbeetu kugoberera bya mubiri. Naye olw’okwagala buli omu abeerenga muweereza wa munne.
Kale abaagalwa, nga Katonda bwe yatwagala bw’atyo naffe tuteekwa okwagalananga.