Okukungubaga 4

Luganda Contemporary Bible (Biblica)

1Zaabu ng’ettalazze! Zaabu ennungi ng’efuuse! Amayinja ag’omuwendo gasaasaanye buli luguudo we lutandikira.

2Abaana ba Sayuuni ab’omuwendo abaali beenkana nga zaabu ennungi, kaakano bali ng’ensuwa ez’ebbumba, omulimu gw’emikono gy’omubumbi.

3Ebibe biyonsa abaana baabyo, naye abantu bange bafuuse ng’abatalina kisa, bafaanana nga bammaaya mu ddungu.

4Olw’ennyonta omwana ayonka gy’alina, olulimi lwe lukwatira ku kibuno ky’akamwa ke; abaana basaba emmere naye tewali n’omu agibawa.

5Abaalyanga ebiwoomerera basabiriza ku nguudo; n’abo abaakuzibwa ng’abambala engoye ezinekaaneka bali ku ntuumu ez’ebisasiro.

6Ekibonerezo ky’abantu bange kisinga ekya Sodomu, ekyawambibwa mu kaseera akatono, nga tewali n’omu azze kukibeera.

7Abalangira baabwe baatukula nnyo okusinga omuzira, nga beeru okusinga amata; n’emibiri gyabwe nga mimyufu okusinga amayinja amatwakaavu, era banyirivu nga safiro.

8Naye kaakano badduggala okusinga enziro, era tebakyasobola kutegeerekeka mu nguudo. Olususu lwabwe lukalidde ku magumba gaabwe; lukaze ng’ekiti ekikalu.

9Abafa ekitala bafa bulungi okusinga abafa enjala, kubanga abafa enjala bayongobera ne baggwaawo olw’obutaba na mmere mu nnimiro.

10Abakazi ab’ekisa abaagala abaana bafumbye abaana baabwe; abaana abaafuuka emmere abantu bange bwe baazikirizibwa.

11Mukama akituukirizza mu busungu bwe obungi, era abayiyeeko obusungu bwe obungi. Yakoleeza omuliro mu Sayuuni ogwayokya emisingi gyakyo.

12Bakabaka b’ensi n’abantu ab’ensi endala tebakkiriza, nti abalabe n’ababakyawa baliyingira mu wankaaki wa Yerusaalemi.

13Ebyo byabatuukako olw’ebibi bya bannabbi be, n’olw’obutali butuukirivu bwa bakabona be, abaayiwa omusaayi gw’abatuukirivu abaababeerangamu.

14Badoobera mu nguudo nga bamuzibe; bajjudde omusaayi so tewali ayaŋŋanga okukwata ku byambalo byabwe.

15Abantu baabagobaganya nga boogera nti, “Muveewo, mmwe abatali balongoofu! Muviireewo ddala, so temutukwatako!” Bwe baafuuka emmombooze, amawanga gabagobaganya nga boogera nti, “Tebakyasaana kubeera wano.”

16Mukama yennyini abasaasaanyizza, takyabafaako. Bakabona tebakyassibwamu kitiibwa, newaakubadde abakadde okuweebwa ebifo eby’oku mwanjo.

17Amaaso gaffe gakooye olw’okulindirira okubeerwa okutajja; nga tulindirira eggwanga eriyinza okutulokola.

18Baatucocca ne batulemesa okutambulira mu nguudo zaffe; enkomerero yaffe n’eba kumpi, n’ennaku zaffe ne ziggwaayo.

19Abaatuyiganyanga baatusinga embiro okusinga n’empungu ez’omu bbanga. Baatugobera mu nsozi ne batuteegera mu ddungu.

20Oyo Mukama gwe yafukako amafuta yagwa mu mitego gyabwe. Twalowooza nga tulikwekebwa mu kisiikirize kye ne tubeeranga mu mawanga.

21Sanyuka ojaguze, ggwe Omuwala wa Edomu, abeera mu nsi ya Uzi; naye lumu olinywa ku kikompe n’otamiira ne weeyambula.

22Ggwe Muwala wa Sayuuni, ekibonerezo kyo kikomye awo, talikwongerayo mu busibe. Naye ggwe omuwala wa Edomu, Mukama alikubonereza, n’ayanika ekibi kyo mu lujjudde.

Okukungubaga

Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.

© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0