Yoweeri 2
Luganda Contemporary Bible (Biblica)
1Bakabona mufuuyire ekkondeere mu Sayuuni. N’akagombe ak’okulabula kavugire ku lusozi lwange olutukuvu. Buli muntu yenna mu ggwanga akankane olw’entiisa, kubanga olunaku lwa Mukama lusembedde, era lunaatera okutuuka.
2Luliba olunaku olutaliiko ssanyu, olw’ekizikiza; olunaku olw’ebire ebingi n’ekizikiza ekikutte. Eggye ery’enzige ery’amaanyi ennyo, ng’ery’abantu abalwanyi ab’ekitalo, libuutikidde ensozi. Tewabangawo ggye lirifaanana mu biro byonna eby’edda, era teribaayo liryenkana mu mirembe gyonna egiriddawo.
3Enzige ezikulembedde zirya ng’omuliro ogwokya buli wantu, n’ezizivaako emabega nazo zibizikiririze ddala ng’ennimi z’omuliro. Mu maaso gye ziraga ensi erabika bulungi ng’ennimiro ya Adeni, naye gye ziva buli kimu zikiridde; ensi yonna zigirese nga ddungu jjereere.
4Zifaanana ng’embalaasi, era zidduka ng’embalaasi ez’entalo.
5Zigenda zibuuka ku nsozi nga zikekera ng’amagaali agasikibwa embalaasi bwe gakekera; ne ziwuuma nga bwe zitulikatulika ng’omuliro ogwokya ebisubi ebikalu; era nga ziri ng’eggye eddene mu lutalo eryetegekedde okulumba omulabe.
6Abantu abazirabyeko nga zisembera bali mu bulumi bungi, era bonna beeraliikirivu.
7Zirumba n’amaanyi ng’eggye ery’abalwanyi, ne ziwalampa ebisenge ng’abajaasi. Zikumbira mu nnyiriri zaazo nga zitereera bulungi awatali kuwaba n’akamu.
8Tezirinnyaganako, buli emu ekumbira mu kkubo lyayo. Ziwaguza mu buli kyakulwanyisa kyonna, ne watabaawo kisobola kuziziyiza.
9Zifubutuka ne zigwira ekibuga. Zikiwalampa ne zibuna bbugwe waakyo. Zirinnya amayumba ne ziyingirira mu madirisa ng’ababbi bwe bakola.
10Zikankanya ensi era n’eggulu ne lijugumira. Zibuutikira enjuba n’omwezi, era n’emmunyeenye tezikyayaka.
11Mukama akulembera eggye lye n’eddoboozi eribwatuuka. Eggye lya Mukama ddene nnyo era lya maanyi. Abalirimu abatuukiriza ebiragiro bye ba maanyi. Kubanga olunaku lwa Mukama lukulu era lwa ntiisa nnyo. Ani ayinza okulugumira?
12Mukama kyava agamba nti, “Mukomeewo gye ndi n’omutima gwammwe gwonna. Mukomeewo n’okusiiba n’okukaaba awamu n’okukungubaga.”
13Muyuze emitima gyammwe so si byambalo byammwe. Mudde eri Mukama Katonda wammwe, kubanga ajjudde ekisa n’okusaasira, era tasunguwala mangu; ajjudde okwagala okutaggwaawo; n’abandisaanidde okubonerezebwa abasonyiwa.
14Ani amanyi obanga anaakyuka n’abasonyiwa, n’abawa omukisa gwe ne musobola n’okuwaayo eri Mukama Katonda wammwe ekiweebwayo eky’emmere enkalu, n’ekiweebwayo eky’ekyokunywa?
15Mufuuyire ekkondeere mu Sayuuni, mulangirire okusiiba okutukuvu. Muyite olukuŋŋaana olussaamu Katonda ekitiibwa.
16Mukuŋŋaanye abantu bonna. Mutukuze ekibiina ekyo ekikuŋŋaanye. Muyite abakulu abakulembeze. Muleete abaana abato n’abo abakyali ku mabeere. N’oyo eyakawasa aveeyo mu kisenge kye, n’eyakafumbirwa naye aveeyo gy’ali.
17Bakabona abaweereza ba Mukama bayimirire wakati w’ekisasi kya yeekaalu n’ekyoto, bakaabirire Mukama nga bamusaba nti, “Saasira abantu bo, Ayi Mukama; abantu b’obusika bwo tobaleka kugwa mu mikono gya bannamawanga okubafuga era n’okubasekerera. Bannamawanga baleme kuduula nga boogera nti, ‘Katonda waabwe ali ludda wa?’ ”
18Awo Mukama n’akwatirwa ensi ye ekisa, n’asaasira abantu be.
19N’ayanukula abantu be nti, “Muwulirize, nzija kubaweereza emmere enkalu, n’envinnyo, n’amafuta, ebimala okubakkusiza ddala, era siriddayo kubaleka, ne mufuuka ekivume, bannaggwanga amalala ne babasekerera.
20“Ndibagobako eggye ery’omu bukiikakkono ne ndigobera mu ddungu ery’ewala ennyo. Ekibinja ekikulembeddemu ndikigobera mu nnyanja ey’Ebuvanjuba, n’ekibinja eky’emabega ndikigobera mu nnyanja ey’Ebugwanjuba. Ekivundu n’okuwunya birituuka wala okusinga ebyo byonna bye libakoze.”
21Mwe abali mu nsi, temutya. Musanyuke era mujaguze; kubanga Mukama abakoledde ebikulu.
22Nammwe ensolo ez’omu nsiko temutya; kubanga omuddo gwonna mu nsiko gusibukidde. Emiti gibaze ebibala byagyo, era emitiini n’emizabbibu nagyo gibaze ebibala bingi.
23Musanyuke mmwe abaana ba Sayuuni; mujagulize Mukama Katonda wammwe. Kubanga abawadde enkuba esooka mu butuukirivu. Era abawadde enkuba nnyingi esooka n’esembayo mu mwaka ng’obw’edda.
24Amawuuliro gammwe galijjula eŋŋaano, n’amasogolero gammwe galijjula envinnyo n’amafuta n’okubooga ne gabooga.
25“Ndibaddizaawo byonna enzige bye zaalya mu myaka egyo. Lyali ggye lyange ery’amaanyi lye nabasindikira nga lirimu lusejjera, n’enzige ezisala obusazi, awamu n’ezo ezizikiririza ddala.
26Kale, munaabanga n’ebyokulya bingi nga bwe muneetaaganga. Munaatenderezanga erinnya lya Mukama Katonda wammwe abakoledde ebintu ebirungi bwe bityo. Era abantu bange tebakyaddayo kuswazibwa.
27Mulimanya nga ndi wakati mu Isirayiri, era nga Nze, Mukama, Nze Katonda wammwe, so tewali mulala; n’abantu bange tebakyaddayo kuswazibwa.
28“Awo olulituuka oluvannyuma lw’ebyo, ndifuka Omwoyo wange ku bantu bonna. Batabani bammwe ne bawala bammwe balitegeeza eby’omu maaso; abakadde baliroota ebirooto, n’abavubuka bammwe balyolesebwa.
29Mu biro ebyo ndifuka Omwoyo wange ku baweereza bange abasajja n’abakazi.
30Era ndyolesa ebyamagero mu ggulu ne ku nsi: omusaayi n’omuliro n’ekikoomi eky’omukka.
31Enjuba erifuuka ekizikiza, n’omwezi gulimyuka ng’omusaayi, olunaku lwa Mukama olukulu era olw’entiisa nga terunnatuuka.
32Awo olulituuka buli alikoowoola erinnya lya Mukama okusaasirwa alirokoka. Kubanga mu lusozi Sayuuni ne mu Yerusaalemi walibaawo abaliwona nga Mukama bw’ayogedde, ne mu abo abalifikkawo mulibaamu abo Mukama b’aliyita.”
Yoweeri
Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.
© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0