Koseya 8
Luganda Contemporary Bible (Biblica)
1“Ffuwa ekkondeere. Empungu eri ku nnyumba ya Mukama kubanga abantu bamenye endagaano yange ne bajeemera amateeka gange.
2Isirayiri bankaabira nga boogera nti, ‘Katonda waffe, tukumanyi.’
3Naye Isirayiri baleseeyo ekirungi; omulabe kyaliva abayigganya.
4Balonda bakabaka nga sikkirizza, balonda abakulembeze be sikakasizza. Beekolera ebifaananyi ebyole mu ffeeza yaabwe ne mu zaabu yaabwe ebiribaleetera okuzikirira.
5Kanyuga ebweru ekifaananyi ky’ennyana yo, ggwe Samaliya. Obusungu bwange bubabuubuukirako. Balituusa ddi okuba abatali batuukirivu?
6Bava mu Isirayiri. Ennyana eyo omuntu eyakuguka mu by’okuweesa, ye yagikola so si Katonda. Era ennyana eyo eya Samaliya eribetentebwa.
7“Basiga empewo, ne bakungula embuyaga. Ekikolo olw’obutaba na mutwe, kyekiriva kirema okubala ensigo. Naye ne bwe kyandibaze, bannaggwanga bandigiridde.
8Isirayiri amaliddwawo; ali wakati mu mawanga ng’ekintu ekitagasa.
9Bambuse ne bagenda eri Obwasuli, ng’endogoyi ey’omu nsiko eri yokka. Efulayimu aguliridde abaganzi.
10Newaakubadde nga beetunze eri amawanga, ndibakuŋŋaanya, era ndibawaayo eri okubonaabona nga banyigirizibwa kabaka ow’amaanyi.
11“Newaakubadde nga Efulayimu baazimba ebyoto bingi eby’ebiweebwayo olw’ekibi, bifuuse byoto bya kukolerako bibi.
12Nabawandiikira ebintu bingi mu mateeka gange, naye ne babifuula ekintu ekigwira.
13Bawaayo ebiweebwayo gye ndi, ne balya ennyama yaabyo, Mukama tabasanyukira. Kaakano alijukira obutali butuukirivu bwabwe n’ababonereza olw’ebibi byabwe: Baliddayo e Misiri.
14Isirayiri yeerabidde omutonzi we, n’azimba embiri, ne Yuda ne yeeyongera okuzimba ebibuga ebiriko bbugwe; naye ndisindika omuliro ku bibuga byabwe, ne gwokya ebigo byabwe.”
Koseya
Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.
© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0