Ezeekyeri 30

Luganda Contemporary Bible (Biblica)

1Awo ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti,

2“Omwana w’omuntu, wa obunnabbi oyogere nti: ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “ ‘Mwekaabireko mwogere nti, “Zibasanze ku lunaku olwo”

3kubanga olunaku luli kumpi, olunaku lwa Mukama luli kumpi, olunaku olw’ebire eri bannaggwanga.

4Ekitala kirirumba Misiri, n’ennaku eribeera mu Buwesiyopya. Bwe balifiira mu Misiri, obugagga bwe bulitwalibwa n’emisingi gyayo girimenyebwa.’

5Obuwesiyopya, ne Puuti, ne Luudi ne Buwalabu yonna, ne Kubu n’abantu bonna ab’ensi ey’endagaano balittibwa ekitala awamu ne Misiri.

6“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “ ‘Abawagira Misiri baligwa, n’amaanyi ge yeewaana nago galimuggwa. Okuva ku mulongooti ogw’e Sevene baligwa n’ekitala, bw’ayogera Mukama Katonda.

7Balirekebwawo wakati mu nsi endala ezalekebwawo, n’ebibuga byabwe biribeera ebimu ku ebyo ebyasaanawo.

8Olwo balimanya nga nze Mukama bwe ndikuma ku Misiri omuliro, n’ababeezi baayo bonna balibetentebwa.

9“ ‘Ku lunaku olwo ndiweereza ababaka mu byombo okutiisatiisa Obuwesiyopya buve mu bugayaavu bwabwo. Entiisa eribakwata ku lunaku Misiri lwe linakuwala, kubanga entiisa erina okujja.

10“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “ ‘Ndimalawo ebibinja by’Abamisiri nga nkozesa omukono gwa Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni.

11Ye n’eggye lye, ensi esinga okuba enkambwe mu mawanga, balireetebwa okuzikiriza ensi. Baligyayo ebitala byabwe ne bajjuza ensi ey’e Misiri emirambo.

12Ndikaza emigga gya Kiyira, ne ntunda ensi eri abantu ababi; nga nkozesa bannaggwanga, ndizikiriza ensi na buli kintu ekigirimu. Nze Mukama nkyogedde.

13“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “ ‘Ndizikiriza bakatonda baabwe ne nzikiriza bakatonda abakole n’emikono mu Noofu. Temulibaamu mulangira mu nsi ey’e Misiri nate, era ensi yonna ndigireetako entiisa.

14Ndifuula Pasulo okuba amatongo, ne Zowani ndikikumako omuliro ne mbonereza n’ab’omu No.

15Ndifuka ekiruyi kyange ku Sini, ekigo kya Misiri eky’amaanyi, era ndimalawo n’ebibinja bya No.

16Ndikuma omuliro ku Misiri, ne Sini baliba mu bubalagaze bungi, ne No balitwalibwa omuyaga, ne Noofu baliba mu kubonaabona okw’olubeerera.

17Abavubuka ab’e Oni n’ab’e Pibesesi baligwa n’ekitala, n’ebibuga biriwambibwa.

18Enzikiza eriba ku Tapaneese emisana, bwe ndimenya ekikoligo kya Misiri, era n’amaanyi ge yeewaana nago galimuggwaamu. Alibikkibwa n’ebire era n’ebyalo bye biriwambibwa.

19Bwe ntyo bwe ndibonereza Misiri, bategeere nga nze Mukama.’ ”

20Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu, mu mwezi ogw’olubereberye ku lunaku olw’omusanvu, ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti,

21“Omwana w’omuntu, mmenye omukono gwa Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, era laba tegusibiddwa okusiigako eddagala, n’okugussaako ekiwero okugusiba, guleme okufuna amaanyi okukwata ekitala.

22Mukama Katonda kyava ayogera nti, Nnina ensonga ne Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, era ndimenya emikono gye, omulamu ogw’amaanyi n’ogwo ogwamenyekako, ne nsuula ekitala okuva mu mukono gwe.

23Ndisaasaanya Abamisiri mu mawanga ne mu nsi ennyingi.

24Ndinyweza emikono gya kabaka w’e Babulooni ne nteeka ekitala mu mukono gwe, naye ndimenya emikono gya Falaawo, era alisindira mu maaso ga kabaka w’e Babulooni, ng’omuntu afumitiddwa anaatera okufa.

25Ndinyweza emikono gya kabaka w’e Babulooni, naye emikono gya Falaawo giriremala, balyoke bamanye nga nze Mukama. Nditeeka ekitala mu mikono gya kabaka w’e Babulooni, n’akigololera ku nsi y’e Misiri.

26Ndibunya Abamisiri mu mawanga ne mbasaasaanya ne mu nsi yonna, era balimanya nga nze Mukama.”

Ezeekyeri

Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.

© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0