2 Samwiri 8

Luganda Contemporary Bible (Biblica)

1Oluvannyuma lw’ebyo, Dawudi n’awangula Abafirisuuti, n’abafuula abaddu be, n’awamba n’ekibuga kyabwe ekikulu.

2Dawudi n’awangula n’Abamowaabu, n’alagira buli omu ku bo yebake wansi, n’abapimako n’olukoba olupima. Buli eyali ebipimo bibiri yattibwanga, naye oyo eyali ow’ebipimo ebisatu nga y’alama. Abamowaabu ne bafuuka baddu ba Dawudi ne bamuwanga obusuulu.

3Ate era Dawudi n’awangula Kadadezeri mutabani wa Lekobu, kabaka w’e Zoba, bwe yali nga yeddiza amatwale ge ku Mugga Fulaati.

4Dawudi n’awamba amagaali ga Kadadezeri lukumi, n’abeebagala embalaasi kasanvu, n’abaserikale ab’ebigere emitwalo ebiri. N’atema kumpi embalaasi zonna, n’azilemaza n’alekawo kikumi ku zo.

5Awo Abasuuli ab’e Ddamasiko ne bajja okubeera Kadadezeri kabaka w’e Zoba, naye Dawudi n’atta emitwalo ebiri mu enkumi bbiri ku bo.

6Dawudi n’assa ebibinja eby’abaserikale mu Busuuli e Ddamasiko, Abasuuli ne bafuuka baddu be, era ne bamuwanga obusuulu. Mukama n’awa Dawudi obuwanguzi buli gye yagendanga.

7Dawudi n’anyaga engabo eza zaabu ezasitulibwanga abaserikale ba Kadadezeri n’azireeta e Yerusaalemi.

8Kabaka Dawudi n’anyaga n’ebikomo bingi ddala okuva mu Beta ne mu Berosayi, ebibuga ebyali ebya Kadadezeri.

9Awo Toyi kabaka w’e Kamasi bwe yawulira nga Dawudi awangudde eggye lyonna erya Kadadezeri,

10n’atuma mutabani we Yolaamu eri kabaka Dawudi okumulamusaako, n’okumuyozaayoza okuwangula olutalo wakati we ne Kadadezeri. Kadadezeri yalwananga ne Toyi. Yolaamu n’amutwalira ebintu bya ffeeza ne zaabu n’ebikomo.

11Kabaka Dawudi n’abiwonga eri Mukama, nga bwe yakola effeeza ne zaabu bye yaggya mu mawanga amalala ge yawangula.

12Amawanga gaali: Busuuli, ne Mowaabu, n’Abamoni, n’Abafirisuuti ne Amaleki; n’awonga n’omunyago gwa Kadadezeri, mutabani wa Lekobu, kabaka w’e Zoba.

13Erinnya lya Dawudi ne litutumuka, bwe yakomawo okuva okutta Abasuuli omutwalo gumu mu kanaana mu kiwonvu eky’Omunnyo.

14N’ateeka ebibinja bya baserikale mu Busuuli yonna, Abasuuli bonna ne bafuuka baddu ba Dawudi. Mukama n’awa Dawudi obuwanguzi buli gye yagendanga.

15Dawudi n’afuga Isirayiri yenna, ng’afuga abantu be bonna mu bwenkanya ne mu mazima.

16Yowaabu mutabani wa Zeruyiya ye yali omuduumizi w’eggye, Yekosafaati mutabani wa Akirudi nga ye mujjukiza,

17Zadooki mutabani wa Akitubu ne Akimereki mutabani wa Abiyasaali nga be bakabona, Seroya nga ye muwandiisi,

18Benaaya mutabani wa Yekoyaada nga ye mukulu w’Abakeresi n’Abaperesi abaakuumanga ba kabaka, batabani ba Dawudi nga be bawi ba magezi ab’obwakabaka.

2 Samwiri

Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.

© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0